1 Corinthians 10:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ntegeeza emmeeme ye, si eyiyo. Lwaki eddembe lyange lyandikugiddwa emmeeme y'omulala entiitiizi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo. Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?