1 Corinthians 10:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno oba mulya, oba munywa, na buli kirala kyonna kye mukola, mugendererengamu kitiibwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.