1 Corinthians 10:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga nange bwe ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga seefaako nzekka, wabula nga nfa ku bulungi bw'abangi, balyoke balokoke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nga nange bwe sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke.