1 Corinthians 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era nti baanywanga ku kyokunywa kimu eky'omwoyo. Anti baanywanga ku lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga; olwazi olwo yali Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo yali Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo.