1 Corinthians 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke na kusinza bitaliimu ng'abamu mu bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu ne batuula wansi okulya n'okunywa, ne basituka okwesanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.