1 Corinthians 10:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuleke kudda mu bya buseegu ng'abamu mu bo bwe baabikola ne bafaamu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu mu lunaku lumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa ku lunaku olumu abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu.