1 Corinthians 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omukazi bwe yakolebwa ng'ava mu musajja, era n'omusajja bw'abaawo ng'ava mu mukazi, anti byonna biva wa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ng'omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ng'omukazi bwe yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja, n'omusajja azaalibwa mukazi; naye byonna biva wa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda: