1 Corinthians 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sso ng'omukazi eyaweebwa enviiri empanvu ku ye kiba kya kitiibwa? Enviiri empanvu zaamuweebwa okumubikka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukazi bw'akuza enviiri, kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye ng'omukazi okuba n'enviiri empanvu kiba kya kitiibwa? Kubanga enviiri ze zaamuweebwa lwa kumubikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukazi bw'akuza enviiri; kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo.