1 Corinthians 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bino bye nkuutira mmwe sibatenda, kubanga bwe mukuŋŋaana, temweyongera mu bulungi wabula mu bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu bino bye ŋŋenda okubagamba temuli kya kubatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana ebivaamu biba bibi, si birungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kino kye mbakubiriza, sibatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana, ebivaamu tebiba birungi, wabula biba bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mbalagira kino ssibatendereza, kubanga temukuŋŋaana lwa bulungi wabula olw'obubi.