1 Corinthians 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisooka, bwe mukuŋŋaana awamu ng'Ekleziya, mpulira mbu mubeeramu okwetemamu. Ngira ate kino ne nkikkiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekisookera ddala, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe, era nzikiriza nga kiyinza okuba nga kiri bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisookera ddala, bantegeeza nti bwe mukuŋŋaana mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, mwawukanayawukanamu, era ekyo ku ludda olumu nzikiriza nti bwe kiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eky'olubereberye, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe; era nkikkirizaamu.