1 Corinthians 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muba mulya, buli omu asooka kweriira mmere ye, omu aba enjala emuluma, omulala aba atamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga bwe muba mulya buli muntu alya ku lulwe, talinda banne, omu asigala akyali muyala, ate omulala ng'atamidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bwe muba mulya, buli omu alya mmere ye, n'atalinda banne. Abamu baba bakyali bayala, abalala nga batamidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mu kulya kwammwe buli muntu asooka munne okutoola emmere ye yekka; n'omulala alumwa enjala, n'omulala atamiira.