1 Corinthians 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaffe, temulina ka wammwe gye muliira na kunywera? Nandiki Ekleziya wa Katonda gwe mugaya nga muswaza abatalina? Mbagambe ki? Mbatende? Mu kino sibatenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekyo? Temulina nnyumba ze muyinza kuliiramu n'okunyweramu? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina kintu? Nnaabagamba ntya? Nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale temulina maka ga kuliirangamu na kunywerangamu? Oba munyooma ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ne muswaza abo abatalina kantu? Mbagambe ki? Mbatendereze olw'ekyo? Nedda, sibatendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekyo? temulina nnyumba za kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina nnyumba? Nnaabagamba ntya? nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza.