1 Corinthians 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kye nafuna okuva ew'Omukama nange kye nababuulira, nti: Mukama Yezu mu kiro kye baamuweerayo, yakwata omugaati,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama kye yampa, kye nnabayigiriza nti: Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye yampa ekyo kye nabayigiriza mmwe nti: Mukama Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yakwata omugaati,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze nnaweebwa eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati;