1 Corinthians 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu, ekyeggulo nga kiwedde, yakwata ekikompe n'agamba nti: “Ekikompe kino ye Ndagaano empya mu musaayi gwange; buli lwe munaanywanga, kino mukikolanga okunzijukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'eku kikompe bw'atyo, bwe baamala okulya, n'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaankinywangako, olw'okunjijukiranga nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya, ng'ayogera nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw'okunjijukiranga nze.