1 Corinthians 11:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo nno, buli anaalyanga omugaati guno oba n'anywa ku kikompe ky'Omukama nga tasaanidde, anazzanga omusango ku mubiri ne ku musaayi gw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo buli alya ku mugaati guno, oba anywa ku kikopo kya Mukama nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati aba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.