1 Corinthians 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso omukazi bw'atabikka mutwe nga yeegayirira obanga alanga, aswaza omutwe gwe, guba nga ogumwereddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza bba, kubanga aba ng'amwereddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukazi bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, nga tabisse mutwe gwe, aswaza bba; kubanga omukazi oyo aba ng'amwereddwako enviiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa.