1 Corinthians 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba omukazi omutwe tagubikka, n'enviiri azisalireko ddala. Oba omukazi okumusala enviiri, yadde okumumwa omutwe, kya nsonyi, omutwe nno agubikke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale asalengako enviiri ze, naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwako enviiri oba okuzimwako, agubikkengako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omukazi bw'atabikka ku mutwe gwe, asalengako enviiri ze. Naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalako enviiri ze, oba okumwebwa omutwe, kale ateekwa okubikkanga ku mutwe gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako.