1 Corinthians 11:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ye tasaanye kwebikka mutwe, kubanga ye kye kifaananyi kya Katonda n'ekitiibwa kye; naye omukazi kitiibwa kya musajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkanga ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye kye kitiibwa ky'omusajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja ye tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye alaga ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda. Kyokka omukazi ye alaga ekitiibwa ky'omusajja,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja.