1 Corinthians 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulala kukola byewuunyo, omulala kulanga, omulala kwawula bika bya myoyo, omulala bika bya nnimi, omulala kuvvuunula nnimi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulala n'amuwa okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo; omulala okwogeranga ennimi; n'omulala okuvvuunulanga ennimi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi: