1 Corinthians 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa Mwoyo omu ffenna twabatizibwa mu mubiri gumu. Abayudaaya n'Abagereeki, abaddu n'ab'eddembe, ffenna twanywesebwa ku Mwoyo omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tutyo naffe ffenna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, abaddu n'ab'eddembe, twabatizibwa Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, era ffenna twafuna Mwoyo omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.