1 Corinthians 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa ekigere kigamba nti: “Kubanga siri mukono; awo nno sibalirwa ku mubiri,” ekyo tekikigaana n'akamu kubalirwa mu mubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigere bwe kyogera nti, “Kubanga siri mukono, n'olwekyo, siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa ekigere kigamba nti: “Siri mukono, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikiggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri.