1 Corinthians 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye singa okutu kugamba nti: “Kubanga siri liiso, awo nno sibalirwa ku mubiri,” ekyo tekikugaana n'akamu kubalirwa ku mubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okutu bwe kwogera nti, “Kubanga siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa okutu kugamba nti: “Siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikuggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri.