1 Corinthians 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okusinga ebitundu byaffe ebikulu bwe byandyetaaze okusukkulumizibwa. Katonda bwe yatereeza bw'atyo omubiri, ekitundu ekitalina kitiibwa n'akiwa ekitiibwa ekisinga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bwatyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bw'atyo Katonda bwe yatereeza omubiri, ebitundu ebinyoomebwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obunene,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi;