1 Corinthians 12:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda nno yassaawo mu Ekleziya, okusookera ddala Abatume, abookubiri be balanzi, abookusatu be bayigiriza, n'azzaako abakola ebyewuunyo, n'abawonya endwadde, n'abayambi, n'abakulembeze, n'aboogera ebika by'ennimi, n'abavvuunula ennimi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda yassaawo mu kkanisa, okusooka batume, abokubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, ne kuddako abakola eby'amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda yateekamu abantu: abasooka be batume, abaddako be balanzi, ne kuddako abayigiriza, ne kuddako abakozi b'ebyamagero, abawonya abalwadde, abayambi b'abantu, abafuzi, era n'aboogera ennimi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.