1 Corinthians 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno njagala mumanye nti tewali ayogerera mu Mwoyo wa Katonda ayinza ate kugamba nti: “Yezu avumirirwe,” era tewali ayinza kugamba nti: “Mukama Yezu,” wabula ng'ayogerera mu Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva mbategeeza tewali n'omu ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti, “Yesu akolimiddwa;” era tewali n'omu ayinza okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva njagala mutegeere nti tewali muntu n'omu, Mwoyo wa Katonda gw'ayogeza, n'agamba nti: “Yesu avumirirwe!” Era tewali n'omu agamba nti: “Yesu ye Mukama,” wabula nga Mwoyo Mutuukirivu ye akimwogezezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.