1 Corinthians 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa njogera mu nnimi abantu ne bamalayika ze boogera, sso nga sirina kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, obanga ensaazo ezimala gasaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba nga ekide ekivuga, oba ekitaasa ekisaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe njogera ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne siba na kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, oba ng'ebirebe ebikubagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe njogera n'enaimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala.