1 Corinthians 13:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati tulabira mu ndabirwamu, mu kwefaanaanyiriza; naye luli tulirabaganira ddala maaso ku maaso; kati mmanyi kitundu, naye luli ndimanyira ddala nga nze bwe mmanyiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulirabira ddala bulungi amaaso n'amaaso; kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng'abeerabira mu ndabirwamu eteraba bulungi. Naye luli tulirabira ddala bulungi. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu. Naye luli ndimanyira ddala byonna, nga kaakano Katonda bw'ammanyidde ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.