1 Corinthians 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe mba n'obuyinza obw'obulanzi, oba bwe mba nga nsobola okutegeera buli byama byonna na buli magezi, ne bwe mba n'okukkiriza kwonna nga nsobola n'okusigula ensozi, sso nga sirina kwagala, siba kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba ssiri kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe mba n'ekirabo eky'obulanzi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye ne siba na kwagala, mba siriiko kye ngasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nzigyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.