1 Corinthians 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyange byonna ne bwe mbiwaayo, ne bwe ndiwaayo omubiri gwange gwokebwe, sso nga sirina kwagala, sirina kye ŋŋanyulwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mpaayo bye nnina byonna eri abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye nga sirina kwagala, mba ssiriiko kye ngasizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuliisa abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne gwokebwa, naye nga sirina kwagala, sibaako kye ngasiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza.