1 Corinthians 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala kugumiikiriza, kwa kisa; okwagala tekukwatirwa buggya, tekwepanka wadde okwetenda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa. Okwagala tekuba na buggya. Okwagala tekwenyumiikiriza era okwagala tekwekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza