1 Corinthians 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala tekuliiko makoma; okulanga kuliggwaawo; zo ennimi zirisirikka, n'ago amagezi galiggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe wabaawo obulanzi, bulivaawo. Ne bwe wabaawo ekirabo eky'okwogera ennimi, kirikoma. Ne bwe wabaawo amagezi, galiggwaawo. Naye okwagala tekuggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.