1 Corinthians 14:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muluubirire kwagala; mwegombe ebitone bya Mwoyo, naddala eky'obulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugobererenga okwagala, era mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, n'okusingira ddala eky'okutegeeza eby'obunnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muluubirirenga okwagalana, era mwegombenga ebirabo ebigasa omwoyo, na ddala ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga.