1 Corinthians 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwo okuba ennimi ziri nnyingi mu nsi, era mpaawo lutalina makulu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo waliwo mu nsi ennimi nnyingi, era tewali lutalina makulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kya mazima waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era tewali na lumu lutalina makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi waliwo mu nsi engeri z'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri eterina makulu.