1 Corinthians 14:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onootendera Katonda mu mwoyo nga waliwo ali awo atannasomesebwa, ng'omaze okutendereza, anaasobola atya okwanukula nti: “Amiina,” ye bw'aba tategeera ky'ogamba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, oyo atategedde ky'ogamba anaddangamu atya nti, “Amiina,” olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe kitaba bwe kityo, bwe weebaza Katonda mu lulimi olutategeerekeka, omuntu atategeera ky'ogamba asobola atya okuddamu nti “Amiina,” ng'omalirizza okwebaza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo ky'oyo atamanyi anaddangamu atya nti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?