1 Corinthians 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ayogera mu nnimi ayogera na Katonda si na bantu; anti mpaawo amutegeera, wabula ayogera byama mu Mwoyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ayogera mu nnimi tayogera na bantu; kubanga tewali ategeera by'ayogera, naye aba ayogera byama mu mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ayogera ennimi, tayogera na bantu, wabula ayogera na Katonda, kubanga by'ayogera, tewali abitegeera. Ebyama by'ayogera Mwoyo ye abimwogeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ayogera olulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama.