1 Corinthians 14:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, muleme kulowooza nga bato; mubeere bato mu kukola bibi, naye mu mutima mulowooze kikulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, temubanga baana bato mu kulowooza, mube bato mu bubi, naye mu kulowooza mube bakulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, temulowoozanga ng'abaana abato. Naye mu bye mukola, mube ng'abaana abato abatalina musango, wabula mube bakulu mu kulowooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.