1 Corinthians 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu tteeka kyawandiikibwa nti: “Ndyogera n'abantu bano mu nnimi endala, ne mu njogera engwira, era ne ku olwo tebalimpuliriza, Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kyawandiikibwa mu mateeka nti, “Ndyogera n’abantu bano mu nnimi endala, n’emimwa egy’abalala, naye era tebalimpulira, bw’ayogera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyawandiikibwa mu mateeka nti, “Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannamawanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kitabo Ekitukuvu kyawandiikibwa nti: “Ndyogera n'abantu bano, nga njogeza abantu ab'ennimi endala, n'emimwa gy'ab'amawanga amalala, naye era abantu bange tebalimpuliriza. Ekyo Mukama ky'agamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama.