1 Corinthians 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno okwogera mu nnimi si kabonero akaliwo olw'abakkiriza, wabula olw'abatakkiriza; n'ekitone eky'obulanzi tekiriwo lwa batakkiriza, wabula lwa bakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw'abo abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, ennimi tezireetebwa lw'abo abalina okukkiriza, wabula lw'abo abatalina kukkiriza. Naye okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, kuliwo lw'abo abalina okukkiriza, sso si lw'abo abatalina kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatakkiriza wabula eri abakkiriza.