1 Corinthians 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale ng'Ekleziya yenna akuŋŋaanye, mwenna mumala mwogera mu nnimi, awo ne wayingira abatannasoma oba abatakkiriza, tebalibagamba nti mulaluse?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira ab'ebweru oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale singa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo kikuŋŋaana, ne mwogera ennimi, ab'ebweru, oba abo abatalina kukkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira abatamanyi oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse?