1 Corinthians 14:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga n'ebikisiddwa mu mutima gwe munda byeruddwa; olwo aligwa wansi ku maaso ge, n'asinza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyama eby'omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke avuuname ku ttaka, asinze Katonda, ng'ayogera nga Katonda bwali mu mmwe ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebyo by'alowooza mu mutima gwe bibikkulwe, afukamire asinze Katonda, nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo alivuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.