1 Corinthians 14:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, kiki eky'okukola? Bwe mukuŋŋaana, buli omu abaako n'ekintu: omu luyimba lwa kutendereza, omulala kya kuyigiriza, omulala kya kubikkulira banne, omundi kwogera nnimi, n'omulala kuzivvuunula; naye buli kimu kikolebwe lwa kugasa balala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza; byonna bikolebwenga olw'okuzimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abooluganda, bibe bitya? Bwe mukuŋŋaana, omu aba n'oluyimba, omulala aba n'eky'okuyigiriza, omulala aba n'ekyo Katonda ky'amulaze, omulala okwogera ennimi, n'omulala okuvvuunula. Ebyo byonna bikolebwenga olw'okwezimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba.