1 Corinthians 14:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa waliwo ow'okwogera mu nnimi, kino kikolebwe babiri oba abatasukka basatu, naye buli omu mu luwalo lwe, ate ng'omu avvuunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa wabaawo muntu ayogera mu nnimi, boogerenga babiri oba obutasukka basatu, naye mu mpalo, era omu avvuunulenga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa wabaawo aboogera ennimi, abangi bandibadde babiri; bwe basingawo, tebandisusse ku basatu. Era buli omu ayogerenga mu luwalo lwe, nga waliwo n'omulala avvuunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga: