1 Corinthians 14:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atudde awo bw'abaako ne ky'abikuliddwa, eyasoose asirike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo, eyasoose asirikenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye singa omu ku batudde ajjirwa ekigambo kya Katonda, oli abadde ayogera asirikenga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga.