1 Corinthians 14:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba baliko kye baagala okumanya, babuuze babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu lukuŋŋaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaabangako ne kye baagala okumanya, bakibuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogerera mu lukuŋŋaana lw'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.