1 Corinthians 14:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyeerowooza nga mulanzi, obanga alina ebitone bya Mwoyo, yandikkirizza bye mbawandiikidde nti Omukama ye yabiragira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wabeerawo omuntu eyeerowooza nti atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, oba nti afugibwa mwoyo, ategeere nti bye mbawandiikira mmwe, kye kiragiro kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.