1 Corinthians 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayogera mu nnimi yeegasa yekka, sso alanga agasa Ekleziya wa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayogera ennimi aba yeezimba yekka; naye ategeeza eby'obunnabbi azimba ekkanisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ayogera ennimi, yeegasa yekka. Naye oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa.