1 Corinthians 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njagala mwenna mwogere ennimi, naye ate okusingawo njagala mulange. Kubanga alanga akira ayogera mu nnimi, wabula mpozzi ng'ow'ennimi alina amunnyonnyola ekibiina ne kiggyamu omugaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale njagala mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala mutegeeze eby'obunnabbi, kubanga ategeeza eby'obunnabbi ye asinga obukulu ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, ekkanisa eryoke ezimbibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nandyagadde mwenna mwogere ennimi. Naye ekisingira ddala, nandyagadde mwenna mutuuse ku bantu obubaka bwa Katonda, kubanga oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa nnyo okusinga oyo ayogera ennimi, okuggyako mpozzi nga waliwo avvuunula, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kiryoke kiganyulwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe.