1 Corinthians 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati, abooluganda, singa nzija gye muli nga njogera ennimi, mbagasa ki, wabula mpozzi nga mbabuulidde kye ntumiddwa okubabikkulira, oba okumanyisa, oba okulanga oba okuyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano, ab'oluganda, bwe ndijja gye muli ne njogera mu nnimi, ndibagasa ntya? Okuggyako nga mbaleetera ebyo ebimbikuliddwa, bye mmanyi, oba bunnabbi, oba kuyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abooluganda, bwe njija gye muli ne njogera ennimi, mbagasa ki nga sibategeezezza ebyo Katonda by'andaze, oba bye mmanyi, oba bye nnanga, oba bye njigiriza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano, ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza?