1 Corinthians 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋombe bw'evuga n'eddoboozi eritali kkakafu, ani aneetegeka okugenda okutabaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani alyeteekeraateekera okulwana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga n'akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana?