1 Corinthians 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'eneema ya Katonda ndi kati ky'endi; n'eneema ye gye yampa teyafa busa; wabula ate natakabana ne nsinga na bali bonna, newandibadde nga teyali nze eyakola, wabula eneema ya Katonda eri nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi, n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere. Kubanga nnakola emirimu mingi okusinga bonna, naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'ekisa kya Katonda, kyenva mbeera nga bwe ndi kaakano, era ekisa kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Nakola nnyo okusinga abatume abalala bonna, naye si nze nakola, wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.